1 LUG Nze Pawulo omutume, ataatumibwa bantu wadde omuntu, wabula eyatumibwa Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu, BSB BSB: Paul, an apostle—sent not from men nor by man, but by Jesus Christ and God the Father, who raised Him from the dead—
2 LUG awamu n’abooluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ez’e Ggalatiya, BSB BSB: and all the brothers with me, To the churches of Galatia:
3 LUG nga tugamba nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe; BSB BSB: Grace and peace to you from God our Father and the Lord Jesus Christ,
4 LUG Kristo oyo eyeewaayo ku lw’ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi ng’okwagala kwa Katonda, era Kitaffe bwe kuli, BSB BSB: who gave Himself for our sins to rescue us from the present evil age, according to the will of our God and Father,
5 LUG aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina. BSB BSB: to whom be glory forever and ever. Amen.
7 LUG Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola n’okukyusa Enjiri ya Kristo. BSB BSB: which is not even a gospel. Evidently some people are troubling you and trying to distort the gospel of Christ.
9 LUG Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bw’ababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga. BSB BSB: As we have said before, so now I say again: If anyone is preaching to you a gospel contrary to the one you received, let him be under a curse!
10 LUG Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo. BSB BSB: Am I now seeking the approval of men, or of God? Or am I striving to please men? If I were still trying to please men, I would not be a servant of Christ.
11 LUG Kubanga abooluganda, mbategeeza nti, Enjiri gye nababuulira teyeesigamizibwa ku muntu, BSB BSB: For I want you to know, brothers, that the gospel I preached was not devised by man.
12 LUG era nange saagiweebwa muntu wadde okusomesebwa omuntu wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira. BSB BSB: I did not receive it from any man, nor was I taught it; rather, I received it by revelation from Jesus Christ.
14 LUG era nga nnali omu ku bannaddiini abaakulaakulana mu ggwanga lyange, ne nsukkuluma ku Bayudaaya bannange be nakula nabo, era nagezaako nnyo nga bwe nasobola okugoberera empisa zonna ez’edda ez’amateeka g’eddiini yange. BSB BSB: I was advancing in Judaism beyond many of my contemporaries and was extremely zealous for the traditions of my fathers.
15 LUG Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n’ampita olw’ekisa kye, BSB BSB: But when God, who set me apart from my mother’s womb and called me by His grace, was pleased
16 LUG n’ambikkulira Omwana we ndyoke ŋŋende eri Abaamawanga mbabuulire Enjiri era sseebuuza ku muntu n’omu, BSB BSB: to reveal His Son in me so that I might preach Him among the Gentiles, I did not rush to consult with flesh and blood,
17 LUG newaakubadde okwambuka e Yerusaalemi okwebuuza ku batume, naye nagenda mu Buwalabu era oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko. BSB BSB: nor did I go up to Jerusalem to the apostles who came before me, but I went into Arabia and later returned to Damascus.
20 LUG Noolwekyo bye mbawandiikira, si bya bulimba mu maaso ga Katonda. BSB BSB: I assure you before God that what I am writing to you is no lie.
21 LUG Bwe navaayo ne ndaga mu bitundu eby’e Siriya n’eby’e Kirukiya. BSB BSB: Later I went to the regions of Syria and Cilicia.
22 LUG Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinnategeera bwe nfaanana. BSB BSB: I was personally unknown, however, to the churches of Judea that are in Christ.
23 LUG Naye nga bamanyi nti, “Eyatuyigganyanga, kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza.” BSB BSB: They only heard the account: “The man who formerly persecuted us is now preaching the faith he once tried to destroy.”
24 LUG Era ne bagulumiza Katonda ku lwange. BSB BSB: And they glorified God because of me.
Select verses for actions: Enter goes to them and Escape comes back.