2 LUG ng’abo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza b’Ekigambo okuviira ddala ku lubereberye. BSB BSB: just as they were handed down to us by the initial eyewitnesses and servants of the word.
3 LUG Bwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu n’obwegendereza okuva ku by’olubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro ow’ekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana. BSB BSB: Therefore, having carefully investigated everything from the beginning, it seemed good also to me to write an orderly account for you, most excellent Theophilus,
4 LUG Olyoke omanye amazima g’ebyo bye wayigirizibwa. BSB BSB: so that you may know the certainty of the things you have been taught.
6 LUG Abantu abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, era nga batambulira mu mateeka ga Katonda gonna, ne mu biragiro bya Mukama, nga tebaliiko kya kunenyezebwa. BSB BSB: Both of them were righteous in the sight of God, walking blamelessly in all the commandments and decrees of the Lord.
7 LUG Bombi baali bakaddiye nnyo, era tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba. BSB BSB: But they had no children, because Elizabeth was barren, and they were both well along in years.
8 LUG Awo lwali lumu, Zaakaliya bwe yali ng’ali ku mulimu gwe ogw’obwakabona mu maaso ga Katonda, kubanga kye kyali ekiseera eky’oluwalo lwe, BSB BSB: One day while Zechariah’s division was on duty and he was serving as priest before God,
9 LUG n’alondebwa okwoteza obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ng’emirimu gy’obwakabona bwe gyabanga. BSB BSB: he was chosen by lot, according to the custom of the priesthood, to enter the temple of the Lord and burn incense.
10 LUG Mu ssaawa eyo ey’okwoteza obubaane ekibiina kyonna eky’abantu baali bakuŋŋaanidde mu luggya lwa Yeekaalu. BSB BSB: And at the hour of the incense offering, the whole congregation was praying outside.
11 LUG Awo malayika wa Mukama n’alabikira Zaakaliya, n’ayimirira ku luuyi olwa ddyo olw’ekyoto okwoterezebwa obubaane! BSB BSB: Just then an angel of the Lord appeared to Zechariah, standing at the right side of the altar of incense.
12 LUG Zaakaliya n’atya nnyo bwe yalaba malayika, entiisa n’emukwata. BSB BSB: When Zechariah saw him, he was startled and gripped with fear.
13 LUG Naye malayika n’amugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana. BSB BSB: But the angel said to him, “Do not be afraid, Zechariah, because your prayer has been heard. Your wife Elizabeth will bear you a son, and you are to give him the name John.
14 LUG Mwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olw’okuzaalibwa kwe. BSB BSB: He will be a joy and delight to you, and many will rejoice at his birth,
15 LUG Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ng’akyali mu lubuto lwa nnyina. BSB BSB: for he will be great in the sight of the Lord. He shall never take wine or strong drink, and he will be filled with the Holy Spirit even from his mother’s womb.
16 LUG Era alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe. BSB BSB: Many of the sons of Israel he will turn back to the Lord their God.
18 LUG Zaakaliya n’agamba malayika nti, “Ekyo nnaakimanya ntya? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange naye akaddiya nnyo.” BSB BSB: “How can I be sure of this?” Zechariah asked the angel. “I am an old man, and my wife is well along in years.”
19 LUG Malayika n’amugamba nti, “Nze Gabulyeri ayimirira mu maaso ga Katonda, era y’antumye okwogera naawe n’okukuleetera amawulire gano. BSB BSB: “I am Gabriel,” replied the angel. “I stand in the presence of God, and I have been sent to speak to you and to bring you this good news.
20 LUG Naye olw’okuba nga tokkirizza bigambo byange, ojja kuziba omumwa, era togenda kuddamu kwogera okutuusa ng’ebintu ebyo bimaze okubaawo. Kubanga ebigambo byange byonna birimala kutuukirira mu kiseera kyabyo.” BSB BSB: And now you will be silent and unable to speak until the day this comes to pass, because you did not believe my words, which will be fulfilled at their proper time.”
21 LUG Abantu abaali balindirira ebweru wa Yeekaalu okulaba Zaakaliya ne beewuunya nnyo ekyamulwisaayo ennyo bw’atyo. BSB BSB: Meanwhile, the people were waiting for Zechariah and wondering why he took so long in the temple.
22 LUG Oluvannyuma ennyo bwe yavaayo, yali tasobola kwogera nabo, ne bategeera nga mu Yeekaalu afuniddeyo okwolesebwa. N’asigala ng’azibye omumwa naye ng’abategeeza mu bubonero. BSB BSB: When he came out and was unable to speak to them, they realized he had seen a vision in the temple. He kept making signs to them but remained unable to speak.
23 LUG N’abeera mu Yeekaalu okutuusa ennaku ze ez’oluwalo lwe zaggwaako n’alyoka addayo eka. BSB BSB: And when the days of his service were complete, he returned home.
24 LUG Ennaku ezo bwe zaayitawo, mukazi we Erisabesi n’aba olubuto, ne yeekwekera ebbanga lya myezi etaano. BSB BSB: After these days, his wife Elizabeth became pregnant and for five months remained in seclusion. She declared,
25 LUG N’agamba nti, “Mukama nga wa kisa kingi, kubanga anziggyeeko ensonyi olw’obutaba na mwana.” BSB BSB: “The Lord has done this for me. In these days He has shown me favor and taken away my disgrace among the people.”
27 LUG eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, ow’omu lulyo lwa Dawudi. BSB BSB: to a virgin pledged in marriage to a man named Joseph, who was of the house of David. And the virgin’s name was Mary.
28 LUG Awo Gabulyeri n’alabikira Maliyamu n’amulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!” BSB BSB: The angel appeared to her and said, “Greetings, you who are highly favored! The Lord is with you.”
29 LUG Maliyamu n’atya, n’abulwa n’ekyokwogera, ng’okulamusa okwo kumutabudde, nga n’amakulu gaakwo tagategeera. BSB BSB: Mary was greatly troubled at his words and wondered what kind of greeting this might be.
30 LUG Awo malayika n’amugamba nti, “Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda. BSB BSB: So the angel told her, “Do not be afraid, Mary, for you have found favor with God.
31 LUG Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu. BSB BSB: Behold, you will conceive and give birth to a son, and you are to give Him the name Jesus.
32 LUG Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. BSB BSB: He will be great and will be called the Son of the Most High. The Lord God will give Him the throne of His father David,
33 LUG Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma.” BSB BSB: and He will reign over the house of Jacob forever. His kingdom will never end!”
35 LUG Malayika n’amuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, n’amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, n’omwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda. BSB BSB: The angel replied, “The Holy Spirit will come upon you, and the power of the Most High will overshadow you. So the Holy One to be born will be called the Son of God.
36 LUG Laba, muganda wo Erisabesi eyayitibwanga omugumba, kati ali lubuto lwa myezi mukaaga mu bukadde bwe. BSB BSB: Look, even Elizabeth your relative has conceived a son in her old age, and she who was called barren is in her sixth month.
37 LUG Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.” BSB BSB: For no word from God will ever fail.”
39 LUG Awo mu biro ebyo, Maliyamu n’ayanguwa okugenda mu nsi ya Buyudaaya ey’ensozi, mu kibuga kyayo. BSB BSB: In those days Mary got ready and hurried to a town in the hill country of Judah,
40 LUG N’ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n’alamusa Erisabesi. BSB BSB: where she entered the home of Zechariah and greeted Elizabeth.
41 LUG Naye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi n’abuukabuuka era n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu. BSB BSB: When Elizabeth heard Mary’s greeting, the baby leaped in her womb, and Elizabeth was filled with the Holy Spirit.
42 LUG Erisabesi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era n’omwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa. BSB BSB: In a loud voice she exclaimed, “Blessed are you among women, and blessed is the fruit of your womb!
43 LUG Nga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira! BSB BSB: And why am I so honored, that the mother of my Lord should come to me?
44 LUG Kubanga bw’oyingidde n’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olw’essanyu! BSB BSB: For as soon as the sound of your greeting reached my ears, the baby in my womb leaped for joy.
45 LUG Oweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.” BSB BSB: Blessed is she who has believed that the Lord’s word to her will be fulfilled.”
47 LUG “Emmeeme yange etendereza Mukama. N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange, BSB BSB: and my spirit rejoices in God my Savior!
49 LUG Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu; N’erinnya lye ttukuvu. BSB BSB: For the Mighty One has done great things for me. Holy is His name.
50 LUG N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe eri abo abamutya. BSB BSB: His mercy extends to those who fear Him, from generation to generation.
51 LUG Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe. Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala. BSB BSB: He has performed mighty deeds with His arm; He has scattered those who are proud in the thoughts of their hearts.
52 LUG Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka n’agulumiza abawombeefu. BSB BSB: He has brought down rulers from their thrones, but has exalted the humble.
53 LUG Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi. Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu. BSB BSB: He has filled the hungry with good things, but has sent the rich away empty.
54 LUG Adduukiridde omuweereza we Isirayiri, n’ajjukira okusaasira, BSB BSB: He has helped His servant Israel, remembering to be merciful,
55 LUG nga bwe yayogera ne bajjajjaffe, eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.” BSB BSB: as He promised to our fathers, to Abraham and his descendants forever.”
56 LUG Maliyamu n’amala ewa Erisabesi muganda we, ng’emyezi esatu, n’alyoka addayo ewuwe. BSB BSB: Mary stayed with Elizabeth for about three months and then returned home.
57 LUG Awo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi. BSB BSB: When the time came for Elizabeth to have her child, she gave birth to a son.
58 LUG Baliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye. BSB BSB: Her neighbors and relatives heard that the Lord had shown her great mercy, and they rejoiced with her.
59 LUG Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya. BSB BSB: On the eighth day, when they came to circumcise the child, they were going to name him after his father Zechariah.
60 LUG Naye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.” BSB BSB: But his mother replied, “No! He shall be called John.”
61 LUG Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.” BSB BSB: They said to her, “There is no one among your relatives who bears this name.”
62 LUG Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe. BSB BSB: So they made signs to his father to find out what he wanted to name the child.
63 LUG N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo! BSB BSB: Zechariah asked for a tablet and wrote, “His name is John.” And they were all amazed.
64 LUG Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda. BSB BSB: Immediately Zechariah’s mouth was opened and his tongue was released, and he began to speak, praising God.
65 LUG Abantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi. BSB BSB: All their neighbors were filled with awe, and people throughout the hill country of Judea were talking about these events.
66 LUG Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye. BSB BSB: And all who heard this wondered in their hearts and asked, “What then will this child become?” For the Lord’s hand was with him.
67 LUG Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti, BSB BSB: Then his father Zechariah was filled with the Holy Spirit and prophesied:
68 LUG “Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri, kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde. BSB BSB: “Blessed be the Lord, the God of Israel, because He has visited and redeemed His people.
69 LUG Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi, mu nnyumba y’omuddu we Dawudi. BSB BSB: He has raised up a horn of salvation for us in the house of His servant David,
70 LUG Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo, BSB BSB: as He spoke through His holy prophets, those of ages past,
71 LUG Okulokolebwa mu balabe baffe, n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa, BSB BSB: salvation from our enemies and from the hand of all who hate us,
72 LUG okulaga bajjajjaffe ekisa, n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu, BSB BSB: to show mercy to our fathers and to remember His holy covenant,
73 LUG ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu, BSB BSB: the oath He swore to our father Abraham, to grant us
74 LUG okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya, tulyoke tuweereze mu maaso ge, BSB BSB: deliverance from hostile hands, that we may serve Him without fear,
75 LUG mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe. BSB BSB: in holiness and righteousness before Him all the days of our lives.
76 LUG “Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo; kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge. BSB BSB: And you, child, will be called a prophet of the Most High; for you will go on before the Lord to prepare the way for Him,
77 LUG Okumanyisa abantu be obulokozi, obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe. BSB BSB: to give to His people the knowledge of salvation through the forgiveness of their sins,
78 LUG Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi. Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu, BSB BSB: because of the tender mercy of our God, by which the Dawn will visit us from on high,
79 LUG okwakira abo abatudde mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa, okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.” BSB BSB: to shine on those who live in darkness and in the shadow of death, to guide our feet into the path of peace.”
80 LUG Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri. BSB BSB: And the child grew and became strong in spirit; and he lived in the wilderness until the time of his public appearance to Israel.